Poliisi y’e Oyam ekutte omusajja myaka 47 ne banne bataano (5) ku misango gy’okusaddaaka omwana.
Abakwattiddwa kuliko Bosco Owidi, Anjulina Ejang, 42, Bosco Obote, 24, Bonny Okello, 36, Torencio Okello, 21 ne Jennet Adongo 56.
Kigambibwa Owidi yasobodde okweyambisa omusawo w’ekinnansi Adong ne mikwano gye okusadaaka omwana Rescuta Ajok okusobola okufuna obugagga.
Poliisi egamba nti omwana Ajok yabuzibwawo nga 22, October, 2020, Nnyina Rafela Apio omutuuze ku kyalo Anget A mu ggoombolola y’e Aleka bwe yali agenze okukima amazzi.
Omulambo gw’omwana gwasangibwa mu lutobazi lwe Anget A.
Grace Musoke Nababi, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Oyam agamba nti omulambo gw’omwana gwazuuliddwa nga baguggyemu eriiso, okutu kusaliddwako ssaako n’ebitundu by’ekyama.
Musoke agamba nti abakwate bali ku misango gya butemu era okunoonyereza kutandikiddewo mbagirawo.