Omuyimbi Ronald Mayinja avuddeyo ku bigambibwa nti yalidde mu Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) olukwe bwe yakubye oluyimba olugamba nti bannayuganda balina okuddamu okulonda ssentebbe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni ku lw’obukulembeze obulungi.
Mu luyimba ‘Akalulu Kako Mzee’, Mayinja yagambye nti Museveni akoze bulungi nnyo mu kulakulanya eggwanga lino era bannayuganda bagwanidde okuddamu okumwesiga.

Mungeri y’emu yagambye nti wadde bannayuganda betaaga enkyukakyuka, tebannafuna muntu mutuufu, ayinza kudda mu bigere bya Museveni.
Mayinja agamba nti wadde waliwo abagamba nti Museveni musajja mubi nnyo, balimba kuba mukulu Museveni akoze ebirungi ebingi ebisinga ku bya Idi Amin Dada ne Apollo Milton Obote abaaliko abakulembeze b’eggwanga lino.
Wabula omu ku mukwano gwa Mayinja ategerekeseeko erya Kavuma agamba nti Mayinja yamuwadde ensonga lwaki yavuddeyo okuyimbira Pulezidenti Museveni oluyimba lwa Kampeyini.

Kavuma agamba nti Mayinja yamugambye nti ye musajja muyimbi era alina okunoonya ssente mu talenti ye.
Mayinja agamba nti Pulezidenti Museveni yamuwadde ssente okumuyimbira oluyimba era singa ne Bobi Wine amuwa ssente, talina buzibu bwonna kumuyimbira luyimba.

Mungeri y’emu Kavuma agamba nti wadde Mayinja musajja muyimbi era alaba ebigenda mu maaso mu ggwanga, okuvuganya Gavumenti nga talina ssente za kutambuza bulamu kiyinza obutayamba era y’emu ku nsonga lwaki yavuddeyo okuyimbira Pulezidenti Museveni oluyimba okufuna ssente z’okutambuza obulamu.