Omukyala Viena omutuuze ku kyalo Nsanje mu ggwanga erya Malawi atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’okutegeera nti bba abadde ali mu laavu n’omukozi w’awaka (Housegirl).
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, Viena yabadde agezaako okwekebejja kkamera z’awaka ku ssaawa nga 10, bba yabadde akyali ku mulimu kyokka amaaso gatuukidde ku butambi nga bba ali mu laavu n’omukozi.
Mu katambi, omusajja abadde anyumya akaboozi n’omukozi mu bifo eby’enjawulo omuli mu kisenge kye, eddiiro, mukinabiro n’ebifo ebirala.
Viena olw’alabye obutambi obw’enjawulo kuba musajja we abadde amwagala nnyo, yagudde wansi nazirika, kwe kumuddusa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.