Wadde akakiiko k’ebyokulonda kasemberedde okuwandiisa abantu bonna abegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino enkya ku Mmande nga 2, November, 2020 ne ku Lwokubiri nga 3, November, 2020, nate tukuletedde ensonga 2, eziyinza okuviirako Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) owa National Unity Platform (NUP) ne Patrick Oboi Amuriat owa Forum for Democratic Change (FDC) okusubwa okwewandiisa.

Mu kiseera kino waliwo okusika omuguwa wakati wa Poliisi ne bannabyabufuzi omuli abagenda okwewandiisa ku ngeri y’okuteeka mu nkola ebiragiro by’akakiiko k’ebyokulonda.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama yagambye nti tewali kukuba nkungana, buli muntu agenda okwewandiisa alina okuwerekerwako abantu 9 bokka n’emmotoka 3, tewali kuyisa bivvulu wadde ebizindalo nga kikoleddwa okutangira okutambuza Covid-19.

Wabula Bobi Wine ne Amuriat bagamba nti balina okugenda n’abawagizi baabwe ssaako n’abantu abasukka mu 10 era Poliisi terina buyinza kubalemesa.

Amuriat agamba nti akakiiko k’ebyokulonda kali mu nkwawa za Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era y’emu ku nsonga lwaki bateekawo embeera okunyigiriza ab’oludda oluvuganya.

Aba FDC ne NUP bagamba nti buli muwagizi waabwe, waddembe okubeegatako ku lunnaku lw’okwewandiisa ku kisaawe kya Yunivaasite e Kyambogo kuba buli munnayuganda alina eddembe lye.

Wabula omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo agamba nti omuntu yenna asuubira okumenya amateeka, ayinza okusubwa okwewandiisa olwa ddukaduka wakati we ne Poliisi.

Ofwono asabye abantu bonna okutambulira mu mateeka ga Poliisi, akakiiko k’ebyokulonda ku lw’obulungi bw’eggwanga.

Ku nsonga y’emu n’omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti Poliisi yetegese bulungi ddala okufaafagana n’abantu bonna abasuubira okuzimuula amateeka.

Okusika omuguwa wakati wa Poliisi, Bobi Wine ne Amuriat kiraga nti embeera eyinza okusajjuka mu nnaku z’okwewandiisa era abantu bangi bayinza okukwattibwa.

Bobi Wine ne Amuriat singa balemwa okutambulira mu mateeka, nabo bayinza okukwattibwa ne basubwa okwewandiisa.