Okwewandiisa kwa Lt. Gen. Henry Tumukunde ku kifo ky’obukulembeze bw’eggwanga kuzeemu omukoosi era asigadde asobeddwa.
Okusinzira ku ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama, waliwo ebitaateredde bulungi mu biwandiko bwe era alagidde okubitereeza mu bwangu bw’aba ayagala okwewandiisa.

Lt. Gen. Tumukunde y’ani?

Yazaalibwa mu 1959 ne yeegatta ku bayeekera ba NRA e Luweero mu 1981.

Wakati wa 1986 ne 1989 yakolera ku kitebe kya Uganda mu kibuga London ekya Bungereza ng’omuwi w’amagezi ku byokwerinda. Oluvannyuma yafuuka dayirekita mu by’okuteekerateekera abajaasi ba NRA (I989-1996). Y’omu ku baakiika mu lukiiko lwa CA (1993-1995), nga y’akiikirira essaza lya Rubabo mu Rukungiri.

Mu 1996/98, ye yali akulira eby’enzirukanya y’emirimu mu ggye lya UPDF ate mangu ddala mu 1998/2001 n’afuulibwa akulira ekitongole ky’amagye ekikessi CMI. Yakulirako ekitongole ky’amagye ekikettera munda mu ggwanga ekya 1SO, oluvannyuma n’alondebwa okukiikirira amaggye mu Palamenti, wakati wa 2001-2004.

Tumukunde yagaana okuwaayo ofiisi ya ISO eri Brig. Elly Kayanja bwe yali amuddidde mu bigere, wadde eyali Katikkiro w’eggwanga mu biseera ebyo, omugenzi Polof. Apolo Nsibambi n’eyali minisita w’ebyobulamu, nga kati ye Katikkiro w’eggwanga, Dr. Ruhakana Rugunda baafuba okumuwooyawooya, era yeerema.

Ensonga zaamala kuyingizibwamu eyali akwataganya ebitongole by’ebyokwerinda mu ggwanga, Gen. David Sejusa n’akkiriza okuwaayo ofiisi kyokka n’atolotooma nti, ” mu Uganda wokka w’osanga abakulu mu maggye nga bawaayo obuyinza eri be basinga amayinja.”

Mu June 2005, oluvannyuma lw’okwogerera ku leediyo emu ku Kampala, Tumukunde yakwatibwa n’avunaanibwa mu kkooti y’amagye. Omusango ogwamuvunaanibwa gwali gwa kusaasaanya ppokoppoko n’okweyisa mu ngeri ekontana n’enneeyisa y’abamaggye era yasibibwa mu makaage e Kololo okutuusa mu 2007.

Mu 2013, kkooti y’amagye yamuggyako omusango gw’okusaasaanya ppokoppoko, wabula n’asingibwa ogw’okweyisa mu ngeri ekontana n’enneeyisa y’amaggye, era baamulabulwa obutakiddamu.

Mu September 2015, Tumukunde yakuzibwa n’abuusibwa eddaala lya Maj. Gen. n’aweebwa eddaala lya Lt.Gen. era n’awummuzibwa mu magye. Mu kalulu ka 2016, yakola kinene mu kunoonyeza pulezidenti Museveni akalulu. Mu June 2016, yalondebwa ku bwaminisita w’ebyokwerinda ne bamugoba nga March 4, 2018.

Omwaka oguwedde ogwa 2019, Tumukunde yalangirira nga bw’agenda okuvuganya ku kifo kya Loodi Mmeeya wa Kampala wabula ate nga 3, March, 2020 ne yeekyusa n’agamba nti ayagala kya Pulezidenti era kyaddaki awandiisiddwa okuvuganya eyali mukama we Yoweri Kaguta Museveni mu kulonda kwa 2021.