Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Eng. Patrick Oboi Amuriat (POA) akwattiddwa.
Poliisi ekutte Amuriat bw’abadde yakatuuka ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi okwetekateeka okwolekera ku kisaawe kya Yunivasite e Kyambogo.
Amuriat agiddwa mu mmotoka ye era amangu ddala ateekeddwa mu mmotoka ya Poliisi namba UP 4865.
Okusinzira ku ntekateeka okuva mu kakiiko k’ebyokulonda, Amuriat alina okwewandiisa ku ssaawa 6 ez’omutuntu wabula tekimanyiddwa lwaki Poliisi ekedde ku mukwata.
Kigambibwa Amuriat okulangirira nga bw’agenda okugyemera amateeka, y’emu ku nsonga lwaki Poliisi emukutte.
Ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama yalangiridde nti buli muntu agenda okwewandiisa, alina okugenda n’abantu 9 bokka, tewali kuba nkungaana wabula Amuriat yagambye nti byonna alina okubikola era tewali alina kumulemesa.