Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akwattiddwa oluvanyuma lw’okwewandiisa ku kisaawe kya Yunivassite e Kyambogo.
Bobi Wine olusunsuddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama, abadde agezaako okudda waka, Poliisi emukutte ne muggya mu mmotoka ye ne muteeka mu mmotoka ya Poliisi ne mutwala.

Poliisi olukutte Bobi Wine, emmotoka zirabiddwako nga zolekera e Magere era kigambibwa Poliisi ebadde emuzaayo mu makaage, okumutangira okutaataganya eby’entambula, emirimu gy’abantu ssaako n’okunga abantu.