Bya Nalule Aminah
Poliisi ekubye ttiyagaasi mu bawagizi ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akulembeddemu ekibiina kya NUP ku bwa Pulezidenti bwa Uganda era bangi basigadde mu maziga.
Mu bitundu bye Ntinda, ttiyagaasi akubiddwa okugumbulula abawagizi ba Bobi Wine era abamu ku bantu abasigadde nga bekokola embeera ye Barbie Itungo, kabiite wa Kyagulanyi Ssentamu.

Barbie alabiddwako ng’akulukusa amaziga waggulu ku mmotoka wabula bba Bobi Wine asobodde okumuyambako okumusangula amaziga wakati mu mukwano.
Mu kiseera kino Bobi Wine atuuse ku kisaawe e Kyambogo okwewandiisa okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga mu kulonda kwa 2021.



