Poliisi mu kibuga Cape Town ggwanga erya South Africa etandiise okunoonyereza ku bamukwatammundu, abasse abantu 7 ku kyalo Gugulethu.

Bamukwatammundu, bayingidde ennyumba ne batta abakyala 3 n’abasajja 4, ate abantu 2 batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi.

Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonya abatemu wabula abatuuze bagamba nti abatemu, basse abantu nga tewali nsonga yonna ewereddwa.

Mu kiseera kino tewali muntu yenna yazuuliddwa okwenyigira mu ttemu eryo wabula okunoonyereza kutandikiddewo.