Poliisi ekutte abasirikale okuva mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi ekya Senaca ku misango gy’obutemu n’obubbi mu disitulikiti y’e Mukono.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakwattiddwa amannya gasirikiddwa, ku misango gy’okutta Vincent Onen abadde omukuumi ku fakitole ya Dembe mu ggoombolola y’e Nama.

Omusirikale Onen baamunyodde ensingo ne bagikutula mu kiro ekyakeesa ku Mmande ku ssaawa nga 10 ez’ekiro.

Poliisi egamba nti yasobodde okweyambisa kkamera eza CCTV, okuzuula abatemu kyokka ssente ezatwaliddwa tezimanyikiddwa muwendo mu kiseera kino wabula okunoonyereza ku kyagenda mu maaso.