Kyaddaki akakiiko k’ebyokulonda kafundikidde omulimu gw’okuwandiisa abantu bonna abegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino.
Mu nnaku 2, abantu 11 basunsuddwa, omuli ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni, Munnakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Patrick Obio Amuriat, owa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Democratic Party (DP) Norbert Mao, Alliance for National Transformation (ANT) Mugisha Muntu.
Abalala abazze nga bayindipendenti kuliko Mayambala Willy, John Katumba myaka 24, Lt. Gen. Henry Tumukunde, Mwesigye Fred, Kabuleeta Kiiza Joseph n’omukyala omu yekka Kalembe Nancy Linda.
Olususuddwa, ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama asuubiza okuddamu okutegeeza eggwanga olunnaku lw’okulonda omukulembeze w’eggwanga kyokka Kampeyini zakutandiika sabiti ajja ku Mmande nga 9, November, 2020.
Bonna abesimbyewo 10 banokoddeyo ensonga ez’enjawulo ze basuubira okuteeka mu nkola singa balondebwa omuli okulwanyisa ebbula ly’emirimu, okulongoosa ebyenfuna, ebyenjigiriza, okutumbula ebyobulamu, okulongoosa enguudo ssaako n’okomya okutyoboola eddembe ly’obuntu.
Ku Mmande, Pulezidenti Museveni yatoongoza Manifesito ye okulaga bannayuganda byasuubira okwongera okukola singa baddamu okumwesiga okulembera eggwanga lino.
Museveni yasuubiza okwongera amaanyi mu kutumbula ebyobulamu, ebyenjigiriza enguudo, enkolagana n’amawanga amalala, eby’obusuubuzi, okutumbula ebyenfuna maka, okwongera amaanyi mu kulwanyisa ebbula ly’emirimu, ekyawadde bannakibiina essanyu.