Omulamuzi wa kkooti enkulu aliko omusajja gw’asindise okusiba emyaka 20 ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Dennis Abeine asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Wilson Kwesiga mu kkooti etudde Entebbe enkya ya leero.
Omulamuzi agambye nti oludda oluwaabi, lusobodde okuleeta obujjulizi obulaga nti Abeine yasobya ku mwana ali mu gy’obukulu 13 mu December, 2018 ku kyalo Seguku mu Monicipaali y’e Makindye-Ssabagabo.
Mu kkooti, omulamuzi agambye nti okutangira abasajja abegumbulidde okusobya ku baana abato, Abeine amusibye emyaka 20 okuba eky’okulabirako eri abasajja basseduvuto, mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Oludda oluwaabi lugamba nti, Abeine yasobya ku mwana omulundi ogwasooka nga yamusanga mu kinaabiro obudde obw’emisana ng’awaka aliwo yekka namusobyako era nasuubiza okumuwa ebintu eby’enjawulo, singa asirikira ekyama.
Omulundi gwokubiri, Abeine yatwala omwana emanju w’ennyumba era wakati ng’amusobyako, abatuuze bamukwata ng’omwana yenna ali bwereere, era Abeine yasangibwa yakatandiika mu ddakika 2 zokka era nga yenna aswakidde.