Poliisi ekutte abantu musanvu (7) ku by’okulima enjaga yiika ezisukka 200 mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park erimu kwezo, ezisinga okuleeta kuno abalambuzi.
Mu kikwekweeto ekikoleddwa ebitongole ebikuuma eddembe, Poliisi y’e Katwe ebadde yegatiddwako Poliisi y’e Bwera ssaako n’abasirikale mu kitongole ekikesi ekya ISO.

Ku 7 abakwattiddwa, 2 okuli Duncan Kambaho myaka 25 ne Isaac Kule 24, basangiddwa nga bali mu kibira munda.
Okusinzira ku Tyson Rutambika, adduumira Poliisi y’e Katwe, abatuuze baludde nga bemulugunya ku njaga eri mu kitundu kyabwe nga n’abaana abato abagikozesa beyongedde obungi.
Mungeri y’emu agambye nti enjaga ebadde egibwa mu bitundu bye Kasese ebadde yeyongedde, nga y’emu ku nsonga lwaki enkessi zasuliddwa okunoonya abagirima okutuusa enjaga lw’ekuuliddwa.