Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Stephen Mubiru ayongezaayo omusango oguvunaanibwa Mathew Kanyamunyu okutuusa ku Mmande sabiti ejja nga 9 omwezi guno ogwa November.

Kanyamunyu avunaanibwa ne muganzi we Cynthia Munwangari emisango gy’okutta Kenneth Akena nga 12, November, 2016 nga baamukuba essasi.

Akena yafiira mu ddwaaliro lya Norvick mu Kampala oluvannyuma lw’okulongoosebwa, olw’omusaayi omungi ogwamuvaamu.

Mu kkooti enkya ya leero, Bannamateeka ba Kanyamunyu bonna 3 tebalabiseeko omuli MacDusman Kabega, Caleb Alaka ne Evans Ochieng.

Kanyamunyu agambye nti akulungudde ennaku eziri mu 10, nga bannamateeka be tebakwata ssimu ze ate munnamateeka Kabega bw’akutte enkya ya leero, amutegeezeza nga bw’atali mu mbeera nungi.

Asabye omulamuzi okwongezaayo omusango, banamateeka be basobole okuggya mu kkooti era omulamuzi, akkiriza okusaba kwe, nayongezaayo okutuusa ku Mmande sabiti ejja.

Mungeri y’emu omulamuzi alabudde Kanyamunyu okukomya okwonoonera kkooti obudde.