Akakiiko k’ebyokulonda kalangiridde okuddamu okusunsula abantu bonna abegwanyiza okukikirira Bukoto Central mu palamenti mu kulonda okubindabinda okwa 2021.
Mu kiro ekikeseza olunnaku olwaleero, munnakibiina kya National Unity Platform (NUP) Katongole Badru Muhammad abadde yeesmibyewo okukikirira Bukoto Central mu Palamenti, yafiiridde mu kabenje ku luguudo lwa Masaka –Mbarara bwe yabadde agenda e Ruhaama mu disitulikiti y’e Ntungamo, okwetaba mu kuziika Dr Abdul-Noor Annas Kaliisa emisana ga leero.

Katongole abadde ne banne 5 mu mmotoka ekika kya Mark X nga bulaaka nga baasimbudde okuva e Kibuli
Wabula okusinzira kw’amyuka omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Paul Bukenya, akakiiko kalina okuddamu okuwandiisa, bannakibiina kya NUP okuleeta omuntu, ayinza okudda mu bigere bya Katongole.
Bukenya agamba nti Katongole okufa, kitegeeza akakiiko kalina okuddamu okuyita abo abegwanyiza obuyinza okuddamu okuwandiisibwa.
Wabula ne Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akungubadde omugenzi era agambye nti Katongole abadde musajja akoze ebintu eby’enjawulo, okwegatta mu kulwana okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.
Kyagulanyi Ssentamu agambye nti mu kiseera kino enteseganya zitandise wakati wa famire abakulembeze mu NUP okulaba engeri y’okuziika Katongole mu kitiibwa ekimugwanidde.