Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine awadde bannakibiina enseko ku nsonga y’okugabana erinnya lya ‘Musinguzi’ ne mukyala we Kyagulanyi Barbie Itungo.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ku mukolo gw’okutongoza Manifesito y’ekibiina, Bobi Wine yawereddwa erinnya lya ‘Musinguzi’, akatebe n’effumu nga bagamba nti 2021 alina okuwangula obukulembeze bw’eggwanga okudda mu bigere bya Yoweri Kaguta Museveni.

Erinnya ‘Musinguzi’ litegeeza buwanguzi era Bobi Wine bwe yabadde ku katuuti mu kisaawe kye Kakyeka ne mukyala we Barbie, yagambye nti balina okuteesa ne Barbie oba naye alina okweyambisa ku linnya lye ‘Musinguzi’.

Mu manifesito, Bobi Wine yasuubiza ebintu eby’enjawulo omuli okulwanyisa ebbula ly’emirimu, okwongera abasawo n’abasomesa emisaala, okukendeeza mu muwendo gwa baminisita n’ababaka ba Palamenti, okutumbula eby’emizannyo, ekisaawe ky’okuyimba ne bannakatemba ssaako n’ensonga endala.