Poliisi eyungudde abawanvu n’abampi nga beegatiddwako amaggye okunyweza ebyokwerinda ku kisaawe kye Soroti, munnakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Patrick Amuriat eyesimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga lino, waabadde ategese okutongoleza kampeyini ze.

Mu kiseera kino, tewali munnakibiina kya FDC yenna akkirizibwa kuyingira kisaawe era abasirikale buli ssaawa eyitawo, beyongera bungi, okunyweza ebyokwerinda.

Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Soroti (DPC) David Tsiamusangira, ekisaawe kiri kumpi n’eddwaaliro, ng’abalwadde ba Covid-19 bayinza okufuna akaseera akazibu singa embeera etabanguka.

DPC agamba nti FDC erina okunoonya ekifo ekirala weyinza okutwala Kampeyini nga tebayinza kubakkiriza okusembera okumpi n’eddwaaliro.
Mu kiseera kino emmotoka za ttiyagaasi zireteddwa nga n’abasirikale beyongedde okulawuna ekifo.
Ebifaananyi bya Daily Monitor