Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agamba nti ebigenda maaso mu ggwanga, biraga nti yawangudde dda obukulembeze bw’eggwanga mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Kyagulanyi agamba nti bwe yabadde mu kutongoza Manifesito ye mu disitulikiti y’e Mbarara, yawereddwa erinnya lya Musinguzi, ekiraga nti obuwanguzi agenda kubwetikka.

Mungeri y’emu agambye nti famire ye, famire ya mukyala we Barbie Itungo ssaako ne bannakibiina, okulaga nti musajja muwanguzi, tewali muntu yenna ayinza kumulemesa kuwangula.

Barbie Itungo ne Bobi Wine mu kutoongoza Manifesito ya NUP
Barbie Itungo ne Bobi Wine mu kutoongoza Manifesito ya NUP

Okubyogera, asinzidde ku kitebe kya NUP e Kamwokya bw’abadde yeetekateeka okusimbula okwolekera disitulikiti y’e Arua, gy’agenze okutongoleza Kampeyini ze.

Mungeri y’emu Bobi Wine asabye abavubuka okweyambisa ekiseera kino ekya Kampeyini okumunoonyeza akalulu kuba 2021 gwe mukisa gwokka gwe balina okukyusa obuyinza mu ggwanga ate mu mirembe.

Audio