Kkooti enkulu e Masaka eriko ssemaka gwesindise mu kkomera okumala emyaka 40 lwa kusobya ku mwana we.

Ssemaka Benon Kafeero nga mutuuze ku kyalo Mateete mu Tawuni Kanso y’e Mateete mu disitulikiti y’e Sembabule, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Victoria Nakintu Katamba ku misango gy’okusobya ku mwana we gweyezaalira myaka 8 emirundi egiwera mu November, 2015.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Jacob Nahurira, Kafeero ng’omuzadde yalemwa okukuuma omwana we, nga kyansonyi omuzadde okudda ku mwana we ate okumusobyako.

Wadde Omulamuzi Nakintu amusibye emyaka 40, amusaliddeko emyaka 5 n’omwezi gumu, gyakulungudde ku limanda okuva 2015.