Omulamuzi wa kkooti enkulu etudde Entebbe ng’ekulembeddwamu Wilson Kwesiga eriko ssemaka gwesalidde okusibwa emyaka 22 ku misango gy’okugezaako okutta omuntu.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 19, Ogwokusatu, 2019, ssemaka Edward Matsiko yali agezaako okutta mukyala we Edith Namutebi mu maka gaabwe ku kyalo Kawuku e Kisubi mu disitulikiti y’e Wakiso.
Matsiko yakuba Namutebi ennyondo ku mutwe olw’obutakaanya wakati waabwe era omukyala mu ddwaaliro, yamalayo ebbanga erigenda mwaka omulamba.
Mu kuwa ensala ye, omulamuzi agambye nti tewali kubusabusa kwonna Matsiko yali ayagala kutta mukyala we era mu makaage, wasangibwayo ennyondo ku kitanda nga yonna ebunye omusaayi ssaako n’engoye.
Okumusiba emyaka 22, omulamuzi agamba nti kikoleddwa okutangira abasajja abalala okwenyigira mu kikolwa kye kimu eky’okwagala okutta baganze baabwe olw’obutakaanya.