Omusajja asse musajja munne lwa kusigula mukyala we mu disitulikiti y’e Kiboga.
Lubega Disan kati z’embuyaga ezikunta ng’abadde mutuuze ku kyalo Rwanda mu ggoombolola y’e Kibiga ng’abadde yasigula omukyala Muwoozo Kolidina.
Wabula olw’ebbuba, omusajja John Ntezimaana nga mutuuze ku kyalo Kabutemba era mu ggoombolola y’e Kibiga alumbye omusajja eyamusigulira omukyala Lubega namutematema okutuusa lwamusse ate omukyala wadde asimatuuse okutiibwa, amulese amutemye omukono.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala Racheal Kawala, agambye nti omukyala atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kiboga okufuna obujanjabi ate omulambo gwa Lubega gukwasiddwa abenganda okuziikibwa oluvanyuma lw’okwekebejjebwa.
Kawala era agambye nti Poliisi esobodde okuzuula ejjambiya Ntezimaana gye yasobodde okweyambisa okutta Lubega n’okulumya Kolidina eyali mukyala we.
Eddoboozi lya Kawala