Kkooti y’amaggye etuula ku kitebe ky’amaggye e Muhoti mu disitulikiti y’e Fort Portal eriko munnamaggye Private Lotukei Paul myaka 36 okuva mu nkambi y’e Bukara gwekalize emyaka emyaka 90 lwa butemu.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga 30, October, 2020 ku ssaawa 2 ez’ekiro Private Lotukei mu ngeri emenya amateeka yakuba omukyala Nayebale Pamela myaka 26 amasasi agaamutirawo n’omwana we Kusemererwa Owen myezi 9 oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya nga bali mu bbaala ku kyalo Kitumba mu Tawuni Kanso y’e Nyakigumba mu disitulikiti y’e Bunyangabu.

Mu kuwa ensala, ssentebe wa kkooti Lt Col Felix Nyero agambye nti okusinzira ku bujjulizi obuleeteddwa n’obunene bw’omusango, Private Lotukei abadde alina okuweebwa emyaka 90 okuba eky’okulabirako eri abasirikale abalala.

Munnamateeka wa Private Lotukei, Lieutenant George W Kabanda abadde asabye kkooti omuntu we okuweebwa ekibonerezo ekisamusaamu kuba alina abakyala abataano (5) n’abaana 18 ab’okulabirira ate yali talina kigenderwa kya kutta.

Wabula ssentebe Lt Col Nyero alabudde Private Lotukei nti alina eddembe okujjulira mu nnaku 14 zokka.