Abasajja babiri (2) basindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 40 lwa kusobya ku baana bato.
Bano okuli Abdul Noor Galabuzi myaka 36 nga mutuuze ku kyalo Kirangira mu disitulikiti y’e Luweero akaligiddwa emyaka 40 lwa kusobya ku mwana myaka 10 namusiiga ne siriimu.
Oludda oluwaabi, lugamba nti nga 30, December 2018, omwana bwe yali ava ku luzzi, Galabuzi yamutwala mu nnyumba ye namusobyako oluvanyuma namuwa ssente shs 2,000 agule omugaati n’okusirikira ebyama.
Omusajja omulala ye Alex Muwonge amanyikiddwa nga Kawi myaka 27 nga mutuuze ku kyalo Kabulanaka mu ggoombolola y’e Zirobwe naye asibiddwa emyaka 40 lwa kusobya ku mwana ali mu gy’obukulu 12 ate nga akimanyi bulungi nti mulwadde wa siriimu.
Muwonge omwana yamuggya waka bwe yali agenda okwoza ebintu namutwala mu nimiro okumpi n’awaka okumusobyako.
Galabuzi ne Muwonge bonna basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Luweero Anna Mugenyi Bitature.