Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alaze kabiite we Barbie Kyagulanyi omukwano nga batuuka ku kkereziya St Patrick Madera mu disitulikiti y’e Soroti okwetaba mu kusaba.

Bobi atuuse ku kkanisa wakati mu namungi w’omuntu n’okusingira ddala bannakibiina kya NUP era mu ngeri y’okulaga mukyala we Barbie omukwano, amukutte ku mukono okuyingira mu kkereziya wakati mu kusakaanya okuva mu bantu nti “Pulezidenti waffe, Pulezidenti waffe“.

Olw’okulwanyisa Covid-19, mu kkereziya bakkirizaamu abantu batono ddala wabula ebweru abantu babadde bangi ddala nga bonna besuunga okuddamu okulaba ku Pulezidenti waabwe.

Mu kkereziya Bobi Wine awerekeddwako bannakibiina ab’enjawulo nga bakulembeddwamu Ssaabawandiisi w’ekibiina David Lewis Rubongoya.

Ebifaananyi bya Derrick Wandera, Daily Monitor