Abayimbi bagasse eddoboozi okusaba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okubayamba okuddamu okukola.
Abayimbi bagamba nti okuyimba gwe mulimu gwabwe era okubasiba okuva mu March, 2020 olw’okutangira Covid-19 okusasaana, embeera eyongedde okubanyiga omuli okunoonya eky’okulya, ssente okusasula amayumba n’ebintu ebirala.

Oluvanyuma lw’embeera okubanyigiriza, abayimbi abasukka 50 bakubye oluyimba ‘MZEI TUTE’ okusaba Pulezidenti Museveni okubakkiriza okuddamu okutekateeka ebivvulu wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Ekirowoozo ky’okuyimba oluyimba kyakulembeddwamu omuyimbi Os Suna (Omulangira Suna) era munnamawulire, omuyimbi Little Joe yeyakulembeddemu okuwanjagira Pulezidenti Museveni okubayamba okuddamu okukuba ebivvulu.

VIDIYO