Poliisi e Jinja ekutte omusajja abadde yeegulidde erinnya mu kusobya ku bakyala mu kitundu ekyo.
Robert Wanyama abadde amanyikiddwa nga Jackson Wakodo nga mutuuze mu disitulikiti y’e Busia yakwattiddwa.
Wanyama okukwattibwa, kidiridde omukyala ategerekeseeko erya Sophia okuddukira ku Poliisi nga 30, omwezi oguwedde ogwekkumi, nga muwala we ali mu gy’obukulu 18 yali awambiddwa ne mukwano gwe, ng’abawambi basaba ssente emitwalo 50 okumuyimbula.
Amangu ddala, Poliisi yasindika basajja baayo okuva e Kampala omuli aba Flying Squad, CID ne CMI okunoonyereza ku mwana eyabuziddwawo n’okulondoola essimu, eyali esindikiddwa omuzadde, okusindikako ensimbi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi y’abambega Charles Twine, Wanyama abadde yegumbulidde okusobya ku bakazi oluvanyuma lw’okuwambibwa, nabasuula mu samba ly’ebikajo erya Kakira.
Ng’ali mu mikono gya Poliisi Wanyama, yewaanye nti yakasobya ku bakyala 60 bokka kwe kusaba Poliisi okusonyiyibwa.
Eddoboozi lya Twine