Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Labongo Amida mu disitulikiti y’e Kitgum, abatemu abatamanyikiddwa webasse omu ku batuuze nga busasaana enkya ya leero.’

Ssemaka Obonyo Yokoyadi ali mu gy’obukulu 90 kati z’embuya ezikunta ate mukyala we Betty Ladiye myaka 77, asigadde ali mu mbeera mbi.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Wilfred Nyeko, abatemu baasobodde okuyingira mu nnyumba nga ssemaka yebase ne mukyala ne bamutematema okutuusa lwe yafudde ate omukyala atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kitgum ng’ali mu mbeera mbi.

Wabula akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Kitgum Robert Oken agambye nti abatemu, oluvanyuma lw’okutta omusajja, baasobodde okubba ebintu eby’enjawulo.

Mu kiseera kino Poliisi tebannakwata muntu yenna wabula eyungudde basajja baayo okwongera amaanyi mu kunoonyereza.

Wabula abamu ku batuuze bagamba nti Ssemaka Obonyo abadde yakatunda ekitundu ku ttaka lye nga kiteeberezebwa abatemu, ekyabaleese kunyaga nsimbi.