John Katumba omu ku besimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga lino awadde Faridah Nakazibwe enseko bw’abadde asuubiza byasuubira okukola singa alondebwa ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.

Katumba abadde ku Pulogulamu ‘Mwasuze Mutya” era agambye nti kino kye kiseera abavubuka okukwata obuyinza okutwala eggwanga mu maaso.

Agamba nti singa awangula obwa Pulezidenti nga 14, Janwali, 2021, alina okuyita abantu bonna ababadde bavuganya ku bwa Pulezidenti okutuula ku mmeeza emu, okumuwa ebirowoozo byabwe n’okuwangana amagezi ku ngeri y’okutambuza eggwanga.

Mungeri y’emu agambye nti “ebifo bya Minisitule ez’enjawulo weebiri singa abantu bekwata Katumba era tugenda kutandikira ku kya First Lady”.

Okusinzira ku bigambo bya Katumba, ye alowooza nti ekifo kya ‘First Lady’, kiri wansi wa Kabinenti ya Pulezidenti era ebigambo bye, biwadde Nakazibwe enseko okutuusa Pulogulamu bw’ewedde.