Kyaddaki Poliisi ekutte abasajja 3 mu Kampala ku misango gy’okutwalira amateeka mu ngalo ku lunnaku Olwokusatu nga 18, November, 2020 mu Kampala.

Ku Lwokusatu, Poliisi yakwata Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ( Bobi Wine) mu disitulikiti y’e Luuka ku misango gy’okugyemera ebiragiro bya Minisitule y’ebyobulamu mu kulwanyisa Covid-19.

Oluvanyuma lw’okukwattibwa, waliwo abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo abenyigidde mu kwekalakaasa nga basaba Poliisi okuyimbula Kyagulanyi.

Mu Kampala wakati mu kwekalakaasa, waliwo abavubuka abaakoze effujjo ku mukyala nga yalumbiddwa ne bamwambula akasaati ka NRM ne bakookya.

Wabula Poliisi mu Kampala esobodde okweyambisa Kkamera eziri ku makkubo era abasajja bonna abaakola effujjo ku mukyala bakwattiddwa era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti.


  • 367
    Shares