Akakiiko akali ddimu ly’okulwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’omukulembeze w’egwanga aka Anti-Corruption Unit, katubuulidde wekatuuse mu kunoonyereza ku misango egivunaanibwa Pasita Mondo Mugisha n’omuyimbi ate omuwabuzi w’omukulembeze w’eggwanga Catherine Kusaasira egy’okufera abantu n’okweyita kyebatali.

Sabiti ewedde, Pasita Mondo n’Kusasira beeyanjudde mu kakiiko, kubigambibwa nti bekobaana n’omusumba Siraje Ssemanda, eyasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya, ne balimbalimba abasumba ab’enjawulo abalina amasomero g’obwanannyini, okubagyamu ensimbi eziri mu kuwumbi ssaako n’okunyaga abantu ssekinoomu.

Okusinzira ku Lieutenant Colonel Edith Nakalema, akulira akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga, ebiriwo biraga nti Pasita Mondo yali mu lukwe ne Pasita Ssemanda okunyaga abantu ensimbi.

Nakalema agamba nti mukama we era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni yayingidde mu nsonga ezo, kwe kulagira okwongera amaanyi mu kunoonyereza.

Mungeri y’emu agambye nti mukulu Museveni yasobodde okusisinkana abakulembeze ba Pasita mu disitulikiti y’e Moroto, abagamba nti omusumba Ssemanda yabaggyako ensimbi zaabwe, okutema empenda mu ngeri y’okubayamba omuli okusaba Palamenti, okubataasa.