Poliisi efulumizza alipoota ku bantu abattibwa, mu nnaku 2 mu kwekalakaasa nga bawakanya eky’okusiba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) omu ku besimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga lino.

Kyagulanyi, baamukwatira mu disitulikiti y’e Luuka bwe yali agenze okuba Kampeyini nga 18, omwezi guno ogwa November, ekyavaako abantu okwekalakaasa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Okwekalakaasa kwakulungula ennaku 2 nga 18 omwezi guno n’enkera nga 19 ku Lwokuna era ebitongole ebikuuma ddembe nga bikulembeddwamu ekitongole ekya Poliisi, baasobola okweyambisa ttiiyagaasi n’amasasi, okutebenkeza embeera.

Fred Enanga

Wabula mw’alipoota ya Poliisi, abantu 32 battibwa nga bali mu kwekalakaasa, 20 baali ku mirimu gyabwe amasasi ne gabakwata mu butanwa ate 2 baafa nga kivudde kabenje.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, mu nnaku 2, abantu 54 bebattibwa.

Alipoota y’emu eraga nti abantu 1014 bebakakwattibwa mu kwekalakaasa okwaliwo.

Enanga One