Okutya kweyongedde mu ggwanga erya Kenya olw’abantu abazuuliddwa nga balina Covid-19 okweyongera obungi.

Okusinzira ku Minisita w’ebyobulamu Mutahi Kagwe, bukya Covid atuuka mu ggwanga mu gwokusatu, omwezi guno ogwa November, abantu bangi nnyo bazuuliddwa nga balwadde ssaako n’okuffa.

Minisita agamba nti abalwadde n’abafudde omwezi gunno, basinga abazuulibwa nga balwadde ssaako n’abaafa mu October ne September.

Minisita w'ebyobulamu Mutahi Kagwe
Minisita w’ebyobulamu Mutahi Kagwe

Omwezi guno ogwa November, abantu 28,124 bazuuliddwa nga balwadde ate abafudde bali 456.

Okuva omwezi ogwokusatu, Kenya yakafuna abalwadde 83,316 ate yakafiisa abantu 1,452.

Ku balwadde mulimu n’abasawo abasukka 30 era bagamba nti singa Gavumenti eremwa okubawa ebyetaago mu kulwanyisa Covid-19, bagenda kuteeka wansi ebikolwa.