Akwattidde ekibiina kya NUP bendera ku bukulembeze bw’eggwanga lino Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangiridde empagi 4 kwagenda okutambuliza obukulembeze bwe singa bannansi bamwesiga ne bamukwasa obuyinza mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Kyagulanyi anokoddeyo ensonga y’ebyenjigiriza, ebyobulimi, eby’okudduka ssaako n’ebitone.

Agamba nti mu bukulembeze bwe, ebintu ebyo agenda ku bisosowaza ennyo, ekigenda okutumbula ebyenfuna ssaako n’okulwanyisa ebbula ly’emirimu.

Bw’abadde anoonya akalulu mu disitulikiti y’e Budaka, Kyagulanyi awanjagidde abalonzi okweyambisa okulonda okusembedde okumukwasa obuyinza, abatuuse mu Uganda empya.

Kyagulanyi okuvaayo okulaga nti mu bukulembeze bwe alina okukola ku nsonga ya talenti omuli abayimbi, kiraga nti abayimbi omuli Bebe Cool, Ronald Mayinja aba NRM balina okumugondera singa awangula obwa Pulezidenti.

Bobi Wine