Kyaddaki Sheikh Nuhu Muzaata afudde akawungeezi ka leero.
Sheikh Muzaata afiiridde mu ddwaaliro lya IHK e Namuwongo gye yatwalibwa omwezi oguwedde ogwa November ng’ali mu mbeera mbi.
Kigambibwa Sheikh Muzaata abadde alumizibwa mu lubuto wabula ekituufu ekivuddeko okufa kwe, tekimanyiddwa mu kiseera kino.
Okufa kwa Muzaata kusanyalaza eggwanga era abamu ku bantu abavuddeyo mu bwangu okungubaga kuliko omubaka we Kawempe North Latif Ssebagala Sengendo era asabye Omutonzi okwongera okubagumya, “Innalilahi wainailayhi Rajoun. Sheikh Nuhu Muzaata has died, May Allah strengthen us this is a very difficult time“.
Mu bulamu bwe, Sheikh Muzaata abadde musaale nnyo mu kusaba ebitongole ebikuuma ddembe okunoonyereza okuzuula lwaki abasiraamu battibwa era afudde alemedde ku nsonga.
Muzaata wafiiridde yabadde omwogezi w’omuzikiti gwe Kibuli.