Bya Nakaayi Rashidah

Omuwala Flavia Nambazira myaka 20 kabuze kata akulukuse amaziga mu kkooti ya Buganda ku misango gy’okubibwako ssente emitwalo 60.

Nambazira atuuse mu kkooti nga munyivu era agambye nti wakati mu kunoonya emirimu, yawa abakyala 2 okuli Zurah Nakawooya ne Jovia ssente emitwalo 60 nga bamusuubiza okumutwala mu ggwanga erya America okubaako emirimu gyakola.

Agamba nti nga wayise ebbanga, yakitegeera nti yali afereddwa olw’abakyala okwebuzabuza, kwe kuddukira mu kkooti okuyambibwa.

Mu kkooti ebadde ekubirizibwa omulamuzi Gladys Kamasanyu, Jovia omu ku bavunaanibwa okwenyigira mu kubba ensimbi, ategeezeza nga bwatali mu mbeera nungi era amangu ddala omulamuzi ayongezaayo omusango okutuusa nga 18, omwezi guno ogwa December.