Kyaddaki ssaabaminisita wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda agumizza eggwanga nti Uganda esuubira okufuna Ddoozi z’okugema abantu Covid-19 mu Gwokusatu omwaka ogujja ogwa 2021.

Dr. Rugunda agamba nti basuubira ddoozi obukadde 9 era singa zituuka, balina okutandikira ku bantu abali mu bulabe okugema omuli abakadde.

Okubyogera, kidiridde Omubaka we Kasilo Elijah Okupa, okusinzira ku Palamenti enkya ya leero, okuteeka ku ninga Gavumenti okunyonyola wetuusa mu kwetekateeka ku by’okufuna eddagala wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Wabula Dr. Rugunda agamba nti Minisitule y’ebyobulamu ekwataganyeko n’ebitongole eby’enjawulo omuli ekya Global Alliances for Vaccines and Immunization- GAVI okufuna eddagala.

Eddoboozu lya Rugunda