Gavumenti ya Uganda erabudde ku muwendo gw’abantu aboolekedde okufa Covid-19.

Olunnaku olwaleero, abadde amyuka ssaabaminisita ow’okubiri Alhajji Ali Kirunda Kivejinja agenda kuziikibwa mu makaage ku kyalo Buwabe e Bugweri nga yafudde Covid-19 olunnaku olw’eggulo.

Wabula okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa Minisitule ya tekinologiya n’okulungamya eggwanga, mu kiseera kino singa omuntu yenna afuna Covid-19, ayolekedde okufa kuba amalwaliro gajjudde ate obulwadde bweyongedde okusasaana.

Minisitule egamba nti kirabika mu kiseera kino abantu bangi abafa Covid-19 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo kyokka nga tekimanyiddwa olw’obutatwalibwa mu malwaliro.

Minisitule erabudde nti kano ke kadde abantu okweyongera okwambala masiki okwetangira okulwala ssaako n’ okugoberera engeri zonna ezitangira okutambuza obulwadde.

Gavumenti egamba nti esasaanya obukadde 22 ku buli mulwadde wa Covid singa asindikibwa mu kasenge  akagyanjabirwamu abalwadde abayi (ICU ).

Uganda mu kiseera kino yakafuna abalwadde 30,702, yakafiisa 230 ate 10,360 basiibuddwa mu malwaliro.