Eyaliko Kamputeni wa ttiimu y’ebikonde eya Bombers Zebra Mando Ssenyange akubiddwa amasassi agamutiddewo ekiro ekikeesezza olwaleero.

Ssenyange myaka 39 bamuttidde okumpi n’amakaage mu zzooni ya St. Francis e Bwaise.

Okusinzira ku batuuze, Ssenyange ayitiddwa okuva mu makaage ku ssaawa nga 7 ez’ekiro, abantu abatamanyiddwa era akubiddwa amasasi mita nga 400 okuva mu makaage.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonyereza kulaga nti abatemu baabadde mu mmotoka 2 era badduse oluvanyuma lw’okutta Ssenyange olw’okutya abatuuze okubazingako ssaako ne Poliisi.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi y’e Kawempe, etandikiddewo okunoonyereza era mu kifo Ssenyange webamuttidde, wazuuliddwawo ebisosonkole by’amasasi.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago nga ne Poliisi bw’enoonya abatemu.

Luke