Omuyimbi Winnie Nwagi asabye Omutonzi okubonereza Omuntu yenna agezaako okulumba omwana we ku mukutu ogwa Instagram.
Nwagi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuteekayo ekifaananyi ky’omwana we ng’omukyala omuzadde kuba y’emu ku ngeri y’okulaga omwana omukwano n’okulaga nti ddala mukyala muzadde.

Nwagi mu ngeri y’okutaasa omwana we okuvumwa abawagizi, akoze okulabula okwamangu n’okusaba Omutonzi.

Nwagi mu ngeri y’okulaga nti mukyala talina muzannyo gwonna ku mwana we, agambye nti omuntu yenna agezaako okulumba omwana we oba okumwogerako ebikyamu agwanira kufa mu kiseera ky’okuzaala.
