Poliisi evudde mu nsonga z’okunoonyereza ku by’okutta eyaliko Kamputeni wa ttiimu y’ebikonde eya Bombers Zebra Mando Ssenyange eyakubiddwa amasasi sabiti ewedde ku Lwokubiri ekiro.
Ssenyange baamuttidde okumpi n’amakaage mu zzooni ya St. Francis e Bwaise ku ssaawa nga 7 ez’ekiro, mita nga 400 okuva mu makaage.

Wabula omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga sabiiti ewedde mu kwagaliza bannayuganda omwaka omuggya ogwa 2021, agambye nti Ssenyange yattiddwa ebitongole ebikuuma ddembe era yasuubiza nti offiisi ye egenda kunoonyereza okutuusa nga etegedde amazima lwaki yattiddwa.
Kati no ne Poliisi egamba nti ensonga z’okunoonyereza ezirekedde offiisi y’omukulembeze w’eggwanga wabula egenda kuyambibwako Poliisi y’e Katwe.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti balina esuubi nti, offiisi y’omukulembeze w’eggwanga yakunoonyereza ku nsonga ezo.
Eddoboozi lya Enanga