Abasuubuzi mu Kampala abegumbulidde okutundira ebintu mu bbuutu z’emmotoka ku nguudo z’omu Kampala, balabuddwa okukikomya nga tebannakwatibwa.
Mu Kampala, emmotoka ezipaakinga ku makkubo ne batunda ebintu zeyongedde obungi nga kivudde ku bantu okunoonya ensimbi wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Wabula abamu ku basuubuzi abeyambisa emmotoka zaabwe, bagamba nti olw’okuba ne kapito nga mutono, y’emu ku nsonga lwaki bakyalemeddwa okunoonya omudaala oba edduuka kwe bayinza okupangisa.
Omu ku basuubuzi abeyambisa buutu z’emmotoka amanyikiddwa nga Shina nga mutuuzi wa bibala, agamba nti okunoonya 100 y’emu ku nsonga lwaki bali ku nguudo wadde bakimanyi nti kimenya amateeka.
Shina One
Ate omwogezi w’ekitongole ekiteekeratekera ekibuga Kampala ekya KCCA, Daniel Niwabiine agamba nti okutundira ku nguudo kimenya amateeka nga kitaataganya ebyentambula, okutunda ebintu nga tebalina layisinsi, okutundira mu kifo ekimenya amateeka era essaawa yonna bagenda kubagyako.
Niwabiine