Poliisi y’e Kabale ekutte abantu 60 ku misango gy’okuyingira mu Uganda mu ngeri emenya amateeka.

Ku abantu 60 abakwattiddwa, 47 basangiddwa Kabale ate 13 mu disitulikiti y’e Kisoro nga bonna batekateeka kuyingira mu Kampala.

Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, ku 60 abakwattiddwa kuliko bannansi Rwanda 50 ne bannansi ba Congo 19.

Maate agamba bakwate baludde nga beyambisa amakkubo amakyamu okuyingira mu Uganda nga bagenda mu bitundu bye Buganda ne Bunyoro okutambuza emirimu mu ngeri emenya emateeka.