Kanyama wa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform-NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, Edward Ssebuwufu amanyikiddwa nga Eddy Mutwe, asindikiddwa ku limanda mu kkomera lye Masaka ku misango gy’okukuba abasirikale.

Eddy Mutwe yakwattibwa ne banne abasukka mu 90 e Kalangala, Kyagulanyi bwe yali agenze okunoonya akalulu sabiti ewedde ku Lwokusatu era enkya ya leero, basimbiddwa mu kkooti e Masaka era baguddwako emisango 2 omuli okukuma mu bantu omuliro ekyali kiyinza okuvirako abantu okufa ssaako n’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya Covid-19.

Eddy Mutwe
Eddy Mutwe

Abamu ku bakwate batuuse mu kkooti nga bawenyera ssaako n’ebiwundu ku mitwe nga bagamba, byabatuusibwako ebitongole ebikuuma ddembe era bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Benjamin Katana kwebasinzidde okusaba omulamuzi okubakkiriza okweyimirirwa, okusobola okufuna obujanjabi.

Ku biwundu, omulamuzi Charles Yeteise kwasinzidde okukiriza okubayimbula ku mitwalo 10 ezitali za buliwo buli omu ssaako n’abantu ababeyimiridde obukadde 5 buli omu nga nazo si zabuliwo.

Omulamuzi abalagidde, obutaddamu kwenyigira mu bikolwa ku misango egyabakwasa era abalagidde okudda mu kkooti nga 19, January, 2021 ate nga ne Eddy Mutwe ne banne omuli Stanley Kafuko, Lukeman Kampala ne Hassan Katumba  basindikiddwa ku limanda okutuusa ku lunnaku olwo nga 19, January, 2021  ku misango gy’okukuba abasirikale.

Eddie Mutwe ne banne baguddwako emisango mukaaga (6) omuli okukuba abasirikale n’okwonoona emmotoka za Poliisi.