Munnamaggye Private Bobson Amutuheirize asindikiddwa mu kkomera, okusibwa emyaka 101 ku misango gy’obutemu.
Mu kkooti y’amaggye ekedde okutuula ku ssomero lya Mubanda Primary School mu lujjude mu ggoombolola y’e Ryeru mu disitulikiti y’e Rubirizi, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lt. James Omondi, lugamba nti Private Bobson yatta abantu basatu (3) omuli Scovia Tibakazire, Olivia Ninsiima ne Conrad Mayi nga batuuze ku kyalo Nkondo, nga 27, omwezi oguwedde ogwa Desemba.
Mungeri y’emu, yaleka ng’alumiza abantu omuli Maureen Kyakusiimire, Rahuman Mawegye, Ramadhan Mawegye ne Shirani Ahimbisibwe nga bonna batuuze ku kyalo Mubanda era nga yasobola okweyambisa emmundu eyalimu amasasi 120.
Mu kkooti, omusibe akkiriza emisango gy’okutta omukyala Tibakazire wabula emisango gy’okutta abantu babiri (2) gyonna agyegaanye.
Agamba nti okutta n’okulumya yali awunze nga tamidde nga byakola tabitegeera bulungi.
Wabula ssentebe wa kkooti y’amaggye ow’ekibinja eky’okubiri Lt. Col. Emmanuel Mwesigwa, agambye nti okutta abantu yali ategeera bulungi era asingisiddwa emisango 6, ng’emisango 3 egy’obutemu asibiddwa emyaka 101 ku buli musango ate emisango 3 gy’okwagala okutta abantu, asibiddwa emisango 60 ku buli musango kyokka emisango gyonna gigenda kutambulira wamu nga mu kkomera wakumalayo emyaka 101 gyokka.