Gavumenti mu ggwanga Rwanda eyongedde ebiragiro ebikambwe wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu omwezi oguwedde ogwa Decembe, abasukka 50 bafudde ekyongedde okutiisa abakulembeze.

Mungeri y’emu Minisitule egamba nti mu nnaku 7 zokka bazudde abantu 820n abalwadde abasukka 30 bafudde nga ne mu ddwaaliro, abasawo basobeddwa olw’omuwendo ogweyongedde.

Kati no, mu biragiro ebiggya ebiyisiddwa, emmotoka zonna tezirina kutambula okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala, abalambuzi balina okulaga ebiwandiiko nti baakebeddwa nga si balwadde.

Kafyu asigaddewo okuva ku ssaawa 4 ez’ekiro okutuusa 10 ez’okumakya, abasuubuzi balina okuggala amaduuka ku ssaawa 12 ez’akawungeezi, emikolo gyonna egikunganya abantu abangi omuli embaga, ebivvulu gisigadde miggale, okwambala masiki kyabuwaze, okutangtira abantu okutambuza obulwadde.

Abakugu bagamba nti abantu okutambula mu nnaku enkulu okuva mu kibuga okudda mu byalo ssaako n’okuva mu byalo okudda mu kibuga, kyongedde okutambuza obulwadde era basabye omukulembeze w’eggwanga Paul Kagame okulowooza ku ky’okuzza eggwanga ku muggalo, olw’okutaasa abantu okufa.

Bukya Covid atuusa mu Rwanda mu March wa 2020, yakazuula abalwadde 8,848 ate nga yakafiisa abantu 105.