Poliisi mu kibuga Lagos mu ggwanga erya Nigeria ekoze ekikwekweeto mwekwatidde abantu 71 nga bali mu bbaala wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Ekikwekweeto kikoleddwa mu bitundu bye Lekki ne Surulere mu kibuga Lagos era abakwate baguddwako emisango omuli okugyemera ebiragiro ebiyinza okutambuza Covid-19, okutambula mu ssaawa za Kafyu ate nga ebbaala zikyali nzigale ssaako n’okung’ana nga tewali ayambadde masiki.

Basaangiddwa nga bali mu kwenywegera mu bbaala, ekintu ekiyinza okutambuza Covid-19.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kibuga Lagos, Olumuyiwa Adejobi, abakwate essaawa yonna babatwala mu kkooti.

Mungeri y’emu agambye nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso, okutuusa ng’abantu bonna bakkiriza okugondera amateeka.

Olunnaku olw’eggulo, Minisitule y’ebyobulamu yazudde abantu 1,204 nga balina Covid-19, ekiraga nti obulwadde bweyongedde mu ggwanga.

Nigeria yakazuula abantu 91,351 abalina Covid-19 ate yakafiisa abantu 1,318 okuva omwaka oguwedde ogwa 2020.