Akulembeddemu ekibiina kya NUP ku bukulembeze bw’eggwanga lino Robert Kyagulanyi Ssentamu, abikudde ekyama lwaki yakkiriza famire ye, okuva mu Uganda.

Waliwo bannayuganda abasobodde okweyambisa emikutu migatta bantu omuli Face Book, okulumba Kyagulanyi, nga bagamba nti okuggya famire ye mu Uganda, ayinza okuba alina ekigendererwa, eky’okutabangula eggwanga lino singa abalonzi bagaana okumulonda mu kulonda okusembedde sabiiti ejja ku Lwokuna.

Wabula Kyagulanyi, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okutegeeza nti yasobodde okusindika abaana bonna 4 ebweru w’eggwanga olw’okubataasa okubaggya mu kutya.

Kyagulanyi agamba nti okuva lwe yavaayo okuvuganya ssentebe w’ekibiina ki NRM Yoweri Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga, afunye okutisibwatisibwa, okwagala okuwamba abaana be omuli okubalondoola nga ne mu 2017 webaali mu kuteesa ku nsonga y’okuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna eyegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga, ekisenge kya mutabani Solomon Sekayi, bakasukako bboomu ekika kya grenade eyasibira ku ddirisa.

Mungeri y’emu agambye nti okuva 2017, olw’okutya abaana okuwambibwa, abadde abasibira mu kisakaate nga balinga abasibe okutuusa lwe yafunye mikwano gye mu nsi y’ebweru abakkiriza okumukuumira abaana, ye ne mukyala we, okusigala okulwanirira enkyukakyuka.

Kyagulanyi agamba nti wadde abaana batwaliddwa mu nsi y’ebweru, agumizza eggwanga ku nsonga y’emirembe.

Mungeri y’emu n’akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mukulu Museveni yasuubiza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda era yagambye nti tewali muntu yenna ayinza kutabangula ggwanga ng’akyatudde mu ntebe.

Museveni yabadde mu Kampeyini e Mityana.