Amyuka omuwandiisi wa Pulezidenti Yoweri Museveni ow’okulusegere Carolin Kembabazi ali ku misango gy’okulimba abakungu b’akakiiko k’ebyokulonda ayimbuddwa kakalu ka kkooti akawungeezi ka leero.
Kembabazi ali mu gy’obukulu 30 nga mutuuze we Kireka mu Divizoni y’e Kiira mu disitulikiti y’e Wakiso, abadde mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku Buganda Road Gladys Kamasanyu.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, Kembabazi yasobola okweyambisa kifo kye ng’omuwandiisi wa Pulezidenti ow’okulusegere okulimba akakiiko k’ebyokulonda nti Museveni amulagidde okulagira akakiiko k’ebyokulonda okuwa emirimu abantu 3 nga bonna baluganda lwe, omuli Kenneth Magezi, Duncan Muramuzi ne Elia Abomeire okumyuka omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda.
Emisango yagiza wakati w’omwezi oguwedde ogwa November n’omwezi guno ogwa December, 2020 ku kitebe ky’akakiiko mu Kampala.

Kembabazi ayimbuddwa kakalu ka kkooti ka miriyoni emu ate abamweyimiridde nga bonna baganda be omuli Julius Tugume Rutatina ne Godfrey Guma Nabireeba obukadde 10 nga si za buliwo.

Kembabazi okuyimbulwa, bannamateeka be okuli Humphrey Tumwesigye ne James Muhumuza balemeddeko okutegeeza omulamuzi Kamasanyu nti okuyimbulwa ddembe lye erimuweebwa mu ssemateeka wa Uganda.