Bya Nakaayi Rashidah

Akulembeddemu ekibiina kya NUP ku bukulembeze bw’egwanga lino Robert Kyagulanyi Ssentamu awanjagidde abayimbi okuvaayo ku nsonga z’okusiba omuyimbi Nubian Li, Polodyusa Dan Magic ssaako n’abayimbi abato.

Nubian ne banne baakwatibwa omwezi oguwedde ogwa Desemba nga 30 mu disitulikiti y’e Kalangala, Kyagulanyi bwe yali agenze okunoonya akalulu, akayinza okumuyamba okukwata enkasi okulembera eggwanga lino.

Wabula Kyagulanyi agamba nti bayimbi, bannayuganda bavaayo ne begatta nga bawakanya eky’okusiba omuyimbi Omunigeria Omah Lay omwezi oguwedde ogwa Desemba kyokka ku Nubian ne banne, bonna basirise mu kiseera kino.

Nubian Li ne Bobi Wine
Nubian Li ne Bobi Wine

Kyagulanyi bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu makaage e Magere enkya ya leero, asabye abayimbi okuvaayo mu kiseera kino okuyimusa eddoboozi lyabwe ku nsonga za Nubian, kuba kati ekikolebwa, kisuse ku nsonga y’okutyoboola eddembe ly’obuntu.

Bobi Wine ku Nubian

Mungeri y’emu Kyagulanyi agamba nti Ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni atwaliddwa mu kkooti y’ensi yonna ku misango gy’okutyoboola eddembe ly’obuntu.

Mu kkooti y’ensi yonna, Mukulu Museveni atwaliddwayo ne Minisita w’obutebenkevu Gen Elly Tumwine n’abamu ku basirikale mu kitongole kya Poliisi.

Kyagulanyi agamba nti kye basinga okwetaaga, okuteeka envumbo mu mukulu Museveni obutaddamu kufuluma Uganda.