Bishop we Kitgum eyawumula Rev Baker Ochola akiikidde Gavumenti yakuno ensingo ku nsonga y’okutyoboola eddembe ly’obuntu.

Bishop Ochola agamba nti buli munnayuganda alina eddembe lye okwesimbawo, okuwagira omuntu yenna n’okuwagira ekibiina kyonna nga tewali nsonga lwaki ebitongole ebikuuma ddembe bityoboola eddembe ly’obuntu.

Agamba Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino si musango era kimenya amateeka, Poliisi n’amaggye okumusibira mu makaage.

Bishop Ochola
Bishop Ochola

Bw’abadde awayamu naffe, kabuze kata akulukuse amaziga ku ngeri Kyagulanyi gye bamulemesaza okutambula okuva makaage e Magere mu Tawuni Kanso y’e Kasangati okuva nga 14, omwezi guno ogwa Janwali, ku lunnaku, bannayuganda lwe balonda omukulembeze w’eggwanga ssaako n’ebitongole ebikuuma ddembe okwenyigira mu kubba bannayuganda emiggo.

Bishop Ochola awanjagidde Gavumenti okweddako ku by’okutwalira amateeka mu ngalo.

Eddoboozi lye Ochola